Ephesians 2:1-3

Okuggyibwa mu kufa n’okufuulibwa abalamu

1 aEdda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. 2 bEbyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. 3 cEdda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna.
Copyright information for LugEEEE